Sunday, April 19, 2020

OBUBAKA OBW’OKUSAASIRA OLW’OKUFIIRWA OMW. PAUL KYEGOMBE. ~ The Kingdom of Buganda



(THE KINGDOM OF BUGANDA)

Okujjuliza: BAA/20/021 19 Kafuumulampawu, 2020
Oweek. Samuel Mwanje Kiggwe
Omubaka wa Ssaabasajja Kabaka

Essaza South East America (Atlanta, Georgia)

ENSONGA: OBUBAKA OBWOKUSAASIRA OLW’OKUFIIRWA OMW. PAUL KYEGOMBE.

Nkulamusizza nnyo wamu n’okukwebaza emirimu gy’onna gyokola.

Mpandiise mu butongole okutuusa okusaasira kwaffe eri banaffe naddala omutabani Solomon Kyegombe, ab’enganda n’abemikwaano olw’okuviibwako Omw. Paul Kyegombe nga 14 Apr, 2020, abadde abeera mu kitundu kyokulembererako Ssaabasajja Kabaka. 

Tusaasira nnyo ab’ebitundu bya Atlanta, Georgia, gyaweereza emirimu emingi egigata abantu ab’ebiti byona, abato, abakulu, abaludde mu kitundu weewawo n’ababeera baakatuuka

Tusaasira aba tiimu ya Atlanta Cranes, mwabadde aweereza ng’omutendesi omukulu ekimu ku byeyolese nti abadde ayagala nnyo obumu mu bantu.

Tujjukira bulungi nti Omugenzi Paul Kyegombe yakola nnyo mu nteekateeka za Buganda Bumu North American Convention (BBNAC) mu mwaka gwa 2017 eyali mu kibuga Atlanta, Georgia, era emirimu gye gyasiimibwa nnyo.

Tubasaasidde nnyo mwena mu kiseera kino ekizibu era ekyokusoomooza kwekirwadde kya (Coronavirus, COVID 19). Ffenna tusigale nga tuwuliziganya okutuusa embeera bwenetereera okukungubaga mu butongole ku lw’omwagalwa waffe kubanga ky’amazima abadde asaana okusiibulwa mu kitiibwa olw’emirimu gyakoze ku lwa banna-Uganda n’abaganda mu kitundu ekyo.

Twongera okubasabira Omukama abagumye mu kiseera kino ate n’Omwoyo gw’omugenzi, agulamuze kisa. 
Gwatusinze nnyo Ayi Ssaabasajja Kabaka, Twakuumye bubi.

Joseph Kawuki
Minisita Omubeezi owa Gavumenti Ez’Ebitundu n’Okulambula kwa Kabaka era Avunaanyizibwa ku nsonga z’Abaganda Ebweru wa Buganda

Kkopi: Katikkiro
Ssaabawolereza wa Buganda era 
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Omukyuka w’Omubaka, Essaza South East America.
page1image3670224page1image1814592
Osabibwa okujuliza ennamba (Reference number) eragiddwa waggulu
Bulange, Mmengo, P.O. Box 7451, Kampala, Uganda. Tel: 0414 - 274738/9 Web: www.buganda.or.ug Email: info@buganda.or.ug

No comments:

Post a Comment

My brother the genius ~ Dr. Patrick Kyamanywa

My brother the genius ... fare thee well until we meet again We first met with Paul in mid February of 1978 joining St. Stanislaus Mug...